Proverbs 12:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebigambo by'ababi byebakirira kuyiwa musaayi, naye akamwa k'abatuufu kawonya abatuufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebiteeso by’abakozi b’ebibi kuyiwa musaayi, naye ebigambo by’abatuukirivu bye bibawonya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebigambo eby'ababi bya butemu, Naye ebigambo by'abagolokofu biwonya abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebigambo by'ababi bya butemu; naye abenkanya, boogera bya kuwonya bantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebigambo eby'ababi bya kutega musaayi: Naye akamwa k'abagolokofu kalibawonya.