Proverbs 13:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okwekuza kuleeta kimu, nnyombo, naye amagezi gasangwa mu bagoberera okubuulirirwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amalala gazaala buzaazi nnyombo, naye amagezi gasangibwa mu abo abakkiriza okulabulwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amalala galeeta okuwakana okwereere: Naye amagezi gaba n'abo abakkiriza okubuulirirwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okwekuza kuleeta kuwakana, naye eky'amagezi, kwe kukkiriza okubuulirirwa
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amalala galeeta okuwakana okwereere: Naye amagezi gaba n'abo abateesa obulungi.