Proverbs 13:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obugagga obw'omujjirano buggwaawo mangu, naye akuŋŋaanya empolampola abuweza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensimbi enkumpanye ziggwaawo, naye ezijja empolampola zeeyongera obungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obugagga obufunibwa amangu, era buggwaawo mangu. Naye oyo akuŋŋaanya empolampola, ng'akola emirimu aligaggawala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obugagga obujja amangu, era buggwaawo mangu; naye obwo bw'okuŋŋaanya empolampola ng'okola emirimu, bulyeyongera okwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obugagga obufunibwa olw'ebigambo ebitaliimu bulikendeezebwa: Naye oyo akuaanya ng'akola emirimu aliba n'okwala.