Proverbs 13:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Essuubi eddagaalaganye lirumya omwoyo, naye okwegomba okutuukiridde, muti gwa bulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Essuubi erirwawo okutuukirira lirwaza omutima, naye ekyegombebwa bwe kituukirira kiba muti gwa bulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okulwawo okufuna ky'osuubira, kulwaza ebirowoozo; Naye oyo afuna kye yeegomba addamu obulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okulwawo okufuna ky'osuubira, kirwaza ebirowoozo; naye afuna kye yeegomba, oyo addamu obulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Essuubi erirwawo lisinduukiriza emmeeme: Naye ekyegombebwa bwe kijja kiba muti gwa bulamu.