Proverbs 13:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Agaana okulambikibwa agwirwa bwavu na nsonyi, naye afaayo ku kunenyezebwa assibwamu ekitiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Anyooma okukangavvulwa yeereetako obwavu n’obuswavu, naye oyo assaayo omwoyo ku kunenyezebwa aweebwa ekitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obwavu n'okuswala bijjira oyo agaana okubuulirirwa: Naye assaayo omwoyo okunenyezebwa, assibwamu ekitiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Atayagala kubuulirirwa, ayavuwala era aswala; naye akkiriza okunenyezebwa, assibwamu ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obwavu n'ensonyi biriba by'oyo agaana okubuulirirwa: Naye assaayo omwoyo eri okuneenyezebwa alissibwamu ekitiibwa.