Proverbs 13:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyegombebwa bwe kituukirira, kiwoomera omwoyo, naye abasiru beenyinyala okwewala ekibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyegombebwa bwe kituukirira kisanyusa omutima, naye okulekayo okukola ebibi kya muzizo eri abasirusiru.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu asanyuka kye yeegomba bwakifuna; Naye okuva mu bubi kwa muzizo eri abasirusiru.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu asanyuka okufuna kye yeegomba; naye ababi tebaagalira ddala kulekayo kwonoona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekyegombebwa bwe kituukirira kiwoomera emmeeme: Naye okuva mu bubi kwa muzizo eri abasirusiru.