Proverbs 13:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enkabala y'omwavu yandibala emmere ennyingi, naye ennamula omutali bwenkanya egisaanyaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennimiro z’abaavu ziyinza okuvaamu emmere nnyingi, naye obutali bwenkanya ne bugyera yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennimiro z'abaavu, zibala emmere nnyingi; Naye abatali benkanya tebaabaganya kugirya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennimiro z'abaavu, zibala emmere nnyingi; naye abatali benkanya tebabaganya kugirya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu nnimiro ez'abaavu mulimu emmere nnyingi: Naye wabaawo azikirizibwa olw'obutagoberera nsonga.