Proverbs 13:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omugayaavu ayaayaana, naye talina ky'afuna, sso ng'omutima gw'omunyiikivu gulikkuta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu omugayaavu yeegomba kyokka n’atabaako ky’afuna, naye omunyiikivu byayagala byonna abifuna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emmeeme ey'omugayaavu yeegomba, naye tafuna bye yeegomba. Naye omunyiikivu, agaggawala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu omugayaavu, tafuna bye yeegomba; naye omunyiikivu, agaggawala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emmeeme ey'omugayaavu yeegomba n'eteba na kintu: Naye emmeeme ey'abanyiikivu eneegejjanga.