Proverbs 13:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekitangaala ky'abatuukirivu kyaka na bukalangufu, naye akatawaaza k'ababi kazimeera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitangaala ky’abatuukirivu kyaka nnyo, naye ettaala y’abakozi b’ebibi ezikira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abatuukirivu bayakayakana ng'ettaala eyaka, Naye ababi balinga ettaala ezikidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abalungi, bali ng'ettaala ekoleezeddwa n'eyaka; naye bo ababi, bali ng'ettaala ezikidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusana ogw'abatuukirivu gusanyuka: Naye ettabaaza ey'ababi erizikizibwa.