Proverbs 14:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nandibadde mu nseko omutima gwandilumwa, eribadde essanyu ne lifuuka nnaku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enseko zandibaawo naye ng’omutima gujjudde ennaku, era n’enkomerero y’essanyu eyinza okufuuka obuyinike.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mu kuseka omutima gunakuwala; N'essanyu liyinza okuvaamu obuyinike.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enseko zandikweka obuyinike, n'essanyu ne livaamu okunakuwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bwe guseka omutima gunakuwala; N'enkomerero y'okuseka buyinike.