Proverbs 14:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu omugezi atya n'adduka ekibi, naye omusiru yeesunguusula, amala googera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu ow’amagezi atya Mukama n’aleka okukola ebibi, naye omusirusiru yeepankapanka era teyeegendereza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu ow'amagezi atya n'ava mu bubi: Naye omusiru aba n'ettitimbuli, amala gakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'amagezi beegendereza ne beewala okukola ebitasaana; naye abasiru tebassaayo mwoyo, era bafubutukira bye bakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu ow'amagezi atya n'ava mu bubi: Naye omusirusiru aba n'ettitimbuli, era yeeyinula.