Proverbs 14:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Atambulira mu buluŋŋamu atya Omukama, naye atambulira mu makubo amakyamu amunyooma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu atambulira mu bugolokofu atya Mukama, naye ow’amakubo amakyamu anyooma Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Atambulira mu bugolokofu y'atya Mukama; Naye atali mwesimbu, aba anyooma Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwesimbu mu mpisa ze, ye alaga bw'atya Mukama; naye atali mwesimbu, alaga bw'atassaamu Mukama kitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Atambulira mu bugolokofu bwe atya Mukama: Naye akyamakyama mu makubo ge amunyooma.