Proverbs 14:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omujulirwa ow'amazima awonya obulamu, naye omujulirwa afukumula obulimba wa nkwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omujulizi ow’amazima awonya obulamu bw’abantu, naye omujulizi ow’obulimba aba mulimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omujulirwa ow'amazima awonya obulamu bw'omuntu; Naye aleeta eby'obulimba abulyamu olukwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omujulizi ayogera amazima, awonya obulamu bw'omuntu; naye aleeta eby'obulimba, abulyamu olukwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omujulirwa ow'amazima awonya emmeeme z'abantu: Naye aleeta eby'obulimba akyamya.