Proverbs 14:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kutya Omukama mwe muli ekigo ekinywevu; bwe buddukiro bw'abaana be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Atya Mukama alina ekiddukiro eky’amaanyi, era n’abaana be balibeera n’obuddukiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okutya Mukama kugumya nnyo omuntu; Era kukuuma abaana be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okutya Mukama, kugumya nnyo omuntu; era kumukuuma n'ab'omu maka ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu kutya Mukama mulimu okuguma ennyo omwoyo: N'abaana be baliba n'obuddukiro.