Proverbs 14:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okutya Omukama ye nsulo y'obulamu, okuwonya omuntu emitego gy'olumbe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okutya Mukama ye nsulo y’obulamu, kuleetera omuntu okwewala emitego gy’okufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okutya Mukama nsulo ya bulamu, Era kuwonya omuntu okufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okutya Mukama, nsulo ya bulamu era kuwonya omuntu okufa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okutya Mukama nsulo ya bulamu, Okuva mu byambika eby'okufa.