Proverbs 14:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obungi bw'abantu kye kitiibwa kya kabaka, naye obutono bw'abatwalibwa kwe kuzikirira kw'omufuzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitiibwa kya kabaka kiri mu kuba n’abantu bangi, naye omukulembeze ataba n’abantu abeera mu kabi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obungi bwa abantu kye kitiibwa kya kabaka; Naye okubulwa abantu kwe kuzikirira kw'omulangira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abafugibwa gye bakoma okuba abangi, n'ekitiibwa kya kabaka waabwe gye kikoma okuba ekinene. Eky'atalina b'afuga, tekibaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu lufulube lw'abantu mwe muli ekitiibwa kya kabaka: Naye okubulwa abantu kwe kuzikirira kw'omulangira: