Proverbs 14:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akamwa k'omusiru kamuleetera kaggo ku butuuliro, naye emimwa gy'abagezi gibataasa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebigambo by’omusirusiru bye bimuviirako okukubwa, naye eby’abatuukirivu binaabakuumanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusiru by'ayogera, gwe muggo ogumukuba; Naye ebigambo by'ow'amagezi, bimukuuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusiru by'ayogera, bye biba omuggo ogukuba okwekuza kwe; naye ebigambo by'ow'amagezi, bimukuuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu kamwa k'omusirusiru mulimu omuggo ogw'amalala: Naye emimwa gy'ab'amagezi ginaabakuumanga.