Proverbs 14:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutima omukakkamu bwe bulamu bw'omubiri, naye obuggya buvunza amagumba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omutima ogulina emirembe guwangaaza omuntu, naye obuggya buvunza amagumba ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emirembe mu mutima, bwe bulamu bw'omubiri; Naye obuggya, bugulya nga kookolo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Alina emirembe mu mutima, n'omubiri gwe guba mulamu; naye obuggya, bugulya nga kookolo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omutima omutuufu bwe bulamu obw'omubiri: Naye obuggya kwe kuvunda kw'amagumba.