Proverbs 14:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Essanyu lya kabaka liri mu muweereza mugezi, naye obusungu bwe bujjira oyo akola ebiswaza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka asanyukira omuddu akola eby’amagezi, naye obusungu bwa kabaka bunaabuubuukiranga ku oyo akola ebiswaza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuddu akola eby'amagezi y'aganja eri kabaka: Naye asunguwalira oyo akola ebiswaza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabaka basanyukira abaweereza abalungi; naye basunguwalira ababaswaza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuddu akola eby'amagezi ye aganja eri kabaka: Naye obusungu bwe bunaabanga eri oyo akwasa ensonyi.