Proverbs 14:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amagezi g'omwegendereza kwe kumanya amakubo ge, naye obusiru bw'abasiru buwubisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omutegeevu mugezi kubanga afaayo okutegeera by’akola, naye atalina magezi musirusiru kubanga yeerimba nti amanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amagezi g'omutegeevu, gamumanyisa eky'okukola; Naye abasiru obusirusiru bwabwe bubalimbalimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amagezi g'omutegeevu, gamumanyisa eky'okukola; naye obubuyabuya bw'abasiru, bubalimbalimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okutegeera ekkubo lye ge magezi g'omutegeevu: Naye abasirusiru obusirusiru bwabwe kulimba.