Proverbs 15:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amagombe n'entaana Omukama bimuli awo; leero alabisa emitima gy'abaana b'abantu!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okufa n’okuzikirira biri mu maaso ga Mukama, n’okulaba alaba nnyo emitima gy’abaana b’abantu!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amagombe n'okuzikirira biri mu maaso ga Mukama: Kale kiki ky'atamanyi mu mitima gy'abantu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oba ng'ebiri emagombe awali okuzikirira, Mukama nabyo abimanya, kale kiki ekimwekweka mu mitima gy'abantu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amagombe n'okuzikirira biri mu maaso ga Mukama: Kale emitima gy'abaana b'abantu tegisinga nnyo?