Proverbs 15:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutima gw'omutegeevu gunoonya okumanya, naye akamwa k'abasiru, emmere yaako busiru.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omutima omutegeevu gunoonya okumanya, naye akamwa k’abasirusiru kalya busirusiru.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omutima gw'oyo alina okutegeera gunoonya okumanya: Naye abasiru, basanyukira mu butamanya bwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'amagezi baagala okuyiga; naye abo abasiru, basanyukira mu butamanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omutima gw'oyo alina okutegeera gunoonya okumanya: Naye akamwa k'abasirusiru emmere yaako busirusiru.