Proverbs 15:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ofunda n'ekijjulo eky'enva obuva awali omukwano, okusinga eky'ente ensavuwaze ekiriko obukyayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okulya emmere ng’eriko enva endiirwa awali okwagalana, kisinga okuliirako ebyassava awali obukyayi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amaluma awali okwagalana Gasinga okulya ebisava, awali okukyawagana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waakiri okulya amaluma, ne mulya nga mwagalana; okusinga okulya ebisava, awali okukyawagana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amaluma awali okwagalaaa Gasinga ente eya ssava awali okukyawagana.