Proverbs 15:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olulimi lw'abagezi lukenenuka kumanya, naye akamwa k'abasiru kafumbukula busiru.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olulimi lw’omugezi lwogera by’amagezi, naye akamwa k’abasirusiru kafukumula busirusiru bwereere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'amagezi boogera, ebisaana; Naye abasiru boogera bya busirusiru.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'amagezi boogera ebisaanidde; naye abasiru bamokkola buli kye basanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olulimi lw'ab'amagezi lwogera okumanya nga bwe kisaana: Naye akamwa k'abasirusiru kayiwa obusirusiru.