Proverbs 15:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awataba kwebuuza ebirowoozo bitaabuukana, naye awali ababuulirizi abangi biruŋŋama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awatali kuluŋŋamizibwa entegeka zifa, naye awali abawi b’amagezi abangi ziyitamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awatali kuwabulwa, okuteesa kufa; Naye awali abawabuzi abangi, ebiteesebwa birama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awatali muwi wa magezi, bye muteesa tebirama; naye bitereera, awali abawabuzi abangi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awatali magezi okuteesa kufa: Naye kunywerera mu lufulube lw'abo abateesa ebigambo.