Proverbs 15:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekkubo ly'omugezi lyambusa waggulu mu bulamu, aleme kukkirira magombe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekkubo ery’obulamu liyimusa omugezi, ne limuziyiza okukka emagombe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ab'amagezi bakwata ekkubo eryambuka awali obulamu, Ne beewala eriserengeta mu kufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ab'amagezi bakwata ekkubo eryambuka awali obulamu, ne beewala eriserengeta mu kufa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eri ow'amagezi ekkubo ery'obulamu lyambuka waggulu, Alyoke ave mu magombe wansi.