Proverbs 15:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama ayabya ennyumba z'abeekuza, naye ensalo za nnamwandu taziganya kusigulwawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama azikiriza ennyumba y’ab’amalala, kyokka akuuma ensalo za nnamwandu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama alisuula ennyumba ey'ab'amalala; Naye alinyweza ensalo ya nnamwandu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama azikiriza amaka g'abeekulumbaza; naye akuuma n'anyweza ebintu bya bannamwandu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama alisimbula ennyumba ey'ab'amalala: Naye alinyweza ensalo ya nnamwandu.