Proverbs 15:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alulunkana okufuna amagoba amaka ge agasuula mu kabi, naye akyawa enguzi aliba mulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo anoonya okugaggawalira mu bukyamu aleetera ennyumba ye emitawaana, naye oyo akyawa enguzi aliba mulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayaayaanira amagoba ag'obukumpanya, aleetera amaka ge emitawaana; Naye akyawa enguzi, y'aliba omuwangaazi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Alulunkanira amagoba g'afuna mu bukumpanya, amaka ge agaleetera mitawaana; naye atalya nguzi, ye aliba omuwangaazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ayaayaanira amagoba ateganya ennyumba ye ye: Naye akyawa enguzi ye anaabanga omulamu.