Proverbs 15:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Agaana okukomwako aba yeenyoomye yekka, naye afa ku kulabulibwa afuna okutegeera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Agayaalirira okubuulirirwa yeerumya yekka, naye oyo assaayo omwoyo eri okunenyezebwa afuna okutegeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Agaana okubuulirirwa yeefiiriza yekka. Naye oyo akkiriza okunenyezebwa, afuna okutegeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Agaana okubuulirirwa, yeefiiriza yekka. Akkiriza okunenyezebwa, yeeyongera okugeziwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Agaana okubuulirirwa anyooma emmeeme ye: Naye oyo awulira okunenya afuna okutegeera.