Proverbs 15:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nnyumba y'omutuukirivu obugagga bufumbekera, naye omubi by'afuna bisanga kacwano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu nnyumba y’omutuukirivu mubaamu obugagga bungi, naye omukozi w’ebibi by’afuna, bimuleetera emitawaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu nnyumba ey'omutuukirivu mubaamu obugagga bungi: Naye mu magoba ag'omubi mulimu okulaba ennaku.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amaka g'abantu abalungi, gabaamu ebyobugagga bingi; naye amagoba g'omubi, tagafunamu mirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu nnyumba ey'omutuukirivu mubaamu obugagga bungi: Naye mu magoba ag'omubi mulimu okulaba ennaku.