Proverbs 15:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emimwa gy'abagezi gibunya wonna okumanya, naye omutima gw'ababi si bwe gutyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akamwa k’amagezi kabunyisa okumanya, naye omutima gw’abasirusiru si bwe gukola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'amagezi bye boogera bibunyisa okumanya; Naye omutima gw'abasirusiru si bwe gukola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'amagezi bye boogera, bibunyisa okumanya; naye ebirowoozo by'abasiru, si bwe bikola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emimwa gy'ab'amagezi gibunya okumanya: Naye omutima gw'abasirusiru si bwe gukola.