Proverbs 15:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yeenyinyala amakubo g'ababi, naye ayagala abo abagoberera obutuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekkubo ly’omwonoonyi lya muzizo eri Mukama, naye Mukama ayagala oyo anoonya obutuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekkubo ery'omubi lya muzizo eri Mukama: Naye ayagala oyo agoberera obutuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama akyawa enneeyisa y'abantu ababi; naye ayagala abafuba okukola ebituufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekkubo ery'omubi lya muzizo eri Mukama: Naye ayagala oyo agoberera obutuukirivu.