Proverbs 16:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabaka beenyinyala okukola obubi, kubanga nnamulondo essibwawo mu butuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kya muzizo bakabaka okukola ebibi, kubanga entebe ye ey’obwakabaka enywezebwa butuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kibi bakabaka okukola ebibi; Kubanga obutuukirivu bwe bunyweza okufuga kwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka okukola ebintu ebibi kyennyamiza, kubanga obuyinza bwe obw'okufuga, bumuweebwa kukola birungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okukola obubi kwa muzizo eri bakabaka: Kubanga obutuukirivu bwe bunyweza entebe.