Proverbs 16:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Essanyu lya kabaka gy'emimwa emyesimbu; ayagala oyo ayogera bintu bituukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akamwa akogera eby’amazima bakabaka ke basanyukira, era baagala oyo ayogera amazima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emimwa emituukirivu bakabaka gye basanyukira; Era baagala oyo ayogera eby'amazima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabaka basanyukira abo, abababuulira amazima; era baagala abantu aboogera ebituufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emimwa emituukirivu bakabaka gye basanyukira; Era baagala oyo ayogera eby'ensonga.