Proverbs 16:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka bw'asanyuka, obwo bulamu; okuganja gy'ali kiba ng'ekire ky'enkuba mu Ttoggo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka bw’asanyuka kireeta obulamu; n’okuganza kwe, kuli nga ekire eky’enkuba mu biseera ebya ttoggo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okusanyuka kwa kabaka mwe muli obulamu; N'okuganza kwe kulinga enkuba ya ttoggo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka bw'asanyuka, olwo n'ababe balama. Oyo leero gw'aganza, atonnyerwa nkuba egimusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu musana ogw'amaaso ga kabaka mwe muli obulamu; N'okuganza kwe kire kya mu ttoggo.