Proverbs 16:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekkubo ly'abatuufu lyewala ekibi; akuuma ekkubo lye aba akuumye obulamu bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekkubo ly’abagolokofu kwe kwewala ebibi, n’oyo eyeekuuma mu kutambula kwe, awonya emmeeme ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu abagolokofu beewala okukola obubi; N'oyo eyeegendereza mu mpisa ze awonya emmeeme ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abalongoofu, beewala okukola ebibi; era oyo anaawonya obulamu bwe yeegendereza empisa ze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olugendo olw'abagolokofu kuleka bubi: Akuuma ekkubo lye awonya emmeeme ye.