Proverbs 16:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waakiri okuba omwavu mu banaku, okusinga okugabana omunyago n'abeekuza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okubeera n’omwoyo ogwetoowaza era n’okubeera n’abaavu, kisinga okugabana omunyago n’ab’amalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Aba n'omwoyo ogwetoowaza wamu n'abaavu Akira agabana omunyago wamu n'ab'amalala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okwetoowaza n'oba wamu n'abaavu, okira agabana omunyago awamu n'abeekulumbaza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Aba n'omwoyo ogwetoowaza wamu n'abaavu Akira agereka omunyago wamu n'ab'amalala.