Proverbs 16:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alina amagezi alina luzzi lwa bulamu, naye obusiru buleetera basiru kibonerezo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amagezi nsulo ya bulamu eri oyo agalina, naye obusirusiru buleetera abasirusiru okubonerezebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eri omutegeevu, amagezi bwe bulamu; Naye okubuulirira omusiru, kumala biseera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amagezi g'omutegeevu, gamuviiramu obulamu; naye okusomesa omusiru, oteganira bwereere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okutegeera luzzi lwa bulamu eri nnyini kwo: Naye abasirusiru obusirusiru bwabwe bwe bubabuulirira.