Proverbs 16:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutima gw'omugezi guluŋŋamya akamwa ke, ne gwongera emimwa gye obwogezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omutima gw’omuntu ow’amagezi gumuwa enjogera ennungi, era akamwa ke kayigiriza abalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ow'amagezi ayogera bizimba, Ebisikiriza abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ow'amagezi ayogera bya makulu, ne by'ayogera, ne bimatiza abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omutima gw'ow'amagezi guyigiriza akamwa ke, Ne gwongera okuyiga ku mimwa gye.