Proverbs 16:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwoyo gw'omukozi gwe gumuteganira, kubanga akamwa ke ke kamuwaliriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okwagala okulya kuleetera omuntu okukola n’amaanyi, kubanga enjala emukubiriza okweyongera okukola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obwetaavu buleetera omuntu okukola; Alyoke afune ky'anaalya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obwetaavu buleetera omuntu okukola, afune k'alya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omululu gw'omukozi gumukolera emirimu. Kubanga akamwa ke kamwegayirira.