Proverbs 16:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Atta ku liiso aba ategeka bya bubambaavu, n'oyo aluma emimwa aba anoonya kukola kabi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu atemya ku liiso ateekateeka kwonoona, n’oyo asongoza emimwa ategeka kukola bitali birungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Atta ku liiso, ateesa bya bulimba; Aluma emimwa atuukiriza obubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Weerinde oyo atta ku liiso, by'ateesa biba bya kyejo; era bw'aluma emimwa omwekeka, abaako akabi k'ategeka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Aziba amaaso, kwe kuteesa ebigambo eby'obubambaavu: Aluma emimwa atuukiriza obubi.