Proverbs 16:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yeenyinyala bonna abeekuza mu mutima; kino kikakase: tebayinza butabonerezebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli muntu alina omutima ogw’amalala wa muzizo eri Mukama; weewaawo talirema kubonerezebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli muntu alina omutima ogw'amalala wa muzizo eri Mukama: Taliwona nakatono kubonerezebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abeekuza bonna we bafa benkana, Mukama abakyawa. Teri na gye baliddukira kibonerezo ky'alibawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli muntu alina omutima ogw'amalala wa muzizo eri Mukama: Omukono newakubadde nga gwegatta n'omukono, taliwona kubonerezebwa.