Proverbs 16:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekisa n'obwesigwa biddaabiriza olw'ekibi; mu kutya Omukama omuntu mwe yeewalira ekibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okwagala n’olw’obwesigwa, ekibi kisasulibwa, n’okutya Mukama kuleetera omuntu okwewala okukola ebibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okusaasira n'amazima bye birongoosa obutali butuukirivu: Era okutya Mukama kwe kuggya abantu mu bubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuba n'ekisa n'amazima, bye bitukuza omwonoonyi; era n'okutya Mukama, kwe kuggya omuntu mu bibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okusaasira n'amazima bye birongoosa obutali butuukirivu: Era okutya Mukama kwe kuggya abantu mu bubi.