Proverbs 17:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okutanula oluyombo kiri nga kuta bbibiro ly'amazzi, olwetegulanga terunnatandika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okutandika oluyombo kuli ng’omuntu bw’asumulula omudumu gw’amazzi, noolwekyo vvaawo ng’oluyombo terunnatandika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okutanula okuyomba kuli ng'omuntu bw'aggulira amazzi: Kale olekanga okuwakana, waleme okubalukawo oluyombo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okutandikawo empaka, kuli nga kuggulira mazzi. Kale towakananga, waleme kubaawo kuyomba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okutanula okuyomba kuli ng'omuntu bw'aggulira amazzi: Kale olekanga okuwakana nga tewannabaawo kuyomba.