Proverbs 17:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omubuyabuya awaayo engassi, n'awaayo omusingo okweyimirira munne.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu atalina magezi awa obweyamo ne yeetema okusasula amabanja ga muliraanwa we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu omusiru awa obweyamo; okutekerawo munne akabega.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buba busiru okwewaayo okweyimirira omulala, ng'omuteerawo akabega.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu abulwa okutegeera akuba mu ngalo, N'afuuka omuyima mu maaso ga munne.