Proverbs 17:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayagala ebisobyo, anoonya nnyombo; agulumiza omulyango gwe, anoonya kuzikirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo ayagala ekibi anyumirwa ennyombo, n’oyo akola omulyango omunene ogw’omu maaso gwa bbugwe ye nga guyitiridde obunene gulimuteganya nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayagala okuyomba ayagala okusobya: N'oyo eyeegulumiza anoonya okuzikirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayagala ennyombo, ayoya mitawaana; n'oyo eyeekulumbaza, anoonya kuzikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ayagala okuyomba ayagala okusobya: Agulumiza ennyo omulyango gwe anoonya okuzikirira.