Proverbs 17:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuddu omulabalaba alifuga omwana w'aboowo omubi; aligabana obusika ng'omu ku b'oluganda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuddu omugezi alifuga omwana wa bowo akwasa ensonyi, era alifuna ebyobusika ng’omu ku baana b’awaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuddu akola eby'amagezi alifuga omwana akola ebitasaana. Era aliba n'omugabo ogw'obusika ng'omu ku b'oluganda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuweereza atuukiriza obulungi emirimu, alifuga omwana ow'omu nju ow'eddalu, era alifuna omugabo gw'obusika ng'omu ku booluganda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuddu akola eby'amagezi alifuga omwana akwasa ensonyi, Era aliba n'omugabo ogw'obusika mu b'oluganda.