Proverbs 17:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu omutegeevu amaaso ge agasimba ku magezi, naye ag'omubuyabuya agatunuza eri ku nkingi z'ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu omutegeevu, ebirowoozo abissa eri amagezi, naye amaaso g’omusirusiru gasamaalirira ensi gy’ekoma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu omutegeevu ategeka okukola eby'amagezi; Naye omusiru, amala gatandika kino na kiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu omutegeevu, ategeka n'akola eby'amagezi; naye omusiru, amala gatandika kino na kiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amagezi gaba mu maaso g'oyo alina okutegeera: Naye amaaso g'omusirusiru gaba mu njuyi z'ensi ezikomererayo.