Proverbs 17:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwana omusiru aba nnaku nsa eri kitaawe, era buyinike eri nnyina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwana omusirusiru buyinike eri kitaawe, era aleeta ennaku eri nnyina eyamuzaala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwana omusiru anakuwaza kitaawe, Era aleetera nnyina obulumi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwana omusiru, anakuwaza kitaawe, era aleetera nnyina obulumi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana omusirusiru buyinike bwa kitaawe, Era bubalagaze bwa mukazi eyamuzaala.