Proverbs 17:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ogutamu gwa ffeeza, n'akabiga ka zaabu, naye Omukama y'ageza emitima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Entamu erongoosa yakolebwa lwa ffeeza, n’ekikoomi ky’okulongoosa lwa zaabu, naye Mukama agezesa emitima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Entamu erongoosa ffeeza, n'emu kabiga mwe basanusiza zaabu; Naye Mukama y'ageza emitima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zaabu wamu ne ffeeza, bamugereza mu kabiga; naye omutima gw'omuntu, Mukama ye agugeza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Entamu erongoosa eba ya ffeeza, n'ekikoomi kya zaabu: Naye Mukama ye akema emitima.